![]() YIRA NG'OMUGGA.A Poem by Raheem Lyttle Kiyaga![]() How sweet is your mother tongue ?![]()
Mufu wabula tegunazaalibwa
omulanga ogusooka ogw’obulamu omukisa ate era kikolimo bwe nayiga okuyimba. Amaloboozi ganneetooloola ngagagezaako okwekwanya ngo buwundo obubuukira mulaala gw’ekiro. Olulimi lwange " ekidde ekiri emabega wa mannyo gange-lwayaayanira amaloboozi aga makulu ameekusifu lwaleekanira omusana mukaloboozi akabaalufu, oluyimba olwe’nnaku. Nganseka, ne ngeegenya oluyimba munda yange laba ebigambo amakula ate ebikolimo ebirowoozo ebizibu okukwanaganya. Lino ddaala lyambuka mu kizikiza, okumyansa kw’eggulu mu kiro ekikutte bwe zzi zzi zzi. Amaanyi agazza obwongo engulu,ekitala ekyoogi ekkerenda erikaawa, ettondo ly’otuzzi mu mumiro ogwakirira. Bwe nayiga okuyira ng’o mugga okuvulula ng’amazzi Olwonno ennimi engwira nezibutikira omutwe gwange. Engero zino, bwe bugga obuyiwa mu migga egitamanyiddwa businsikanira mu liyanja ry’okuteegera nga zoogera ku by’obujjajja. Omukisa, ekikolimo ekikemo, sitaani okuwuugula kw’ekiwuugulu akawulula ku lulimi lwo Omulabe akutulugunya obumanyi bwebuba bukosa ow’omukwano atandekulira obwomu nga bunzinze. Kye kisumuluzo ekiggulawo buli kye weetaaga mu bulamu bwo era ekiggalawo ekkoligo ly’okufa, okuwanjaga, essaala entandikwa era enkomerero ya buli kimu. Musoke eyeeyaze mu kiyiriro. © 2012 Raheem Lyttle KiyagaAuthor's Note
|
Stats
87 Views
1 Review Added on May 4, 2012 Last Updated on May 4, 2012 Author
|